Monday 7 September 2009

‘Temuteeka byapa bya kkanisa mu mannya gammwe’

‘Temuteeka byapa bya kkanisa mu mannya gammwe’
Bya Paddy Nsobya
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=186&newsId=693644

PAASITA Joseph Sserwadda owa Victory Christian Church mu Ndeeba ali mu kaweefube w’okulaba ng’abalokole ab’ebiwayi ebyenjawulo mu ggwanga beegatta bakole enzikiriza emu etongozebwe gavumenti.

Asabye basumba banne abataasoma bagende basome. Abasabye n’ebyapa by’ettaka ly’ekkanisa ze bakulira babiggye mu mannya gaabwe.

Yasinzidde mu kusaba okwategekeddwa mu Crane Paradise Hotel mu kibuga Mukono ku Lwomukaaga, okwetabiddwamu abasumba okuva mu biwayi eby’enjawulo mu disitulikiti eno.

“Okusooka byonna abasumba abataasoma muddeeyo musome tukomye okwogeranga mu bantu nga twogera ng’abatalina magezi. Kino ky’ekimu ku bitukosa ennyo; butasoma bwa basumba.

Ekirala abooluganda tuteekwa okwegatta tufune n’ekitebe ekikulu gavumenti n’omuntu yenna atwetaaga w’ayinza okutusanga nga bannaffe ab’enzikiriza endala.

Gavumenti n’ab’enzikiriza endala batutwala nga bibiina bya busuubuzi na byannakyewa so si balyoyi bamyoyo lwakuba buli omu ali ku lulwe.

Embeera eno ewadde ebbeetu abantu abakyamu okwekweka mu bulokole.

Bannamukono wadde muva mu biwayi bya njawulo mbasaba muwagire enteekateeka y’okwegatta kw’abalokole ffenna.

Ekirala, abasumba ebyapa by’ettaka ly’ekkanisa mubiggye mu mannya gammwe mubiteeke mu mannya g’ekkanisa, kuba bwe mutakikola abaana bammwe ettaka bajja kulyekomya n’ekkanisa bazimenye,” bwatyo bwe yabakubirizza.’
Published on: Saturday, 5th September, 2009