Monday 1 March 2010

Pastor Meddy Kitaakufe Marries another wife amidist tight police protection

This article is about a second wedding for Ugandan pastor Meddy Kitaakufe. This pastor first had an adulterous relationship with some one's wife. He has now abandoned this lady for a new catch whom he married recently at Nakulabye Baptist church. It is reported that this pastor has been having relationships with so many ladies in his church. What is most absurd is the fact that Uganda police gave him tight security at his wedding. Pentecostal pastors in Uganda have committed so many evils with the support of the current government.

Omusumba awasirizza ku mmundu
Bya Robert Mutebi
Sunday, 28 February 2010 13:47


http://www.bukedde.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=19718:omusumba-awasirizza-ku-mmundu&catid=1:omuko-ogusooka&Itemid=591


OMUSUMBA eyasigula muk’omusajja ow’empeta n’amutwala n’amuzaalamu n’omwana naye amusuddeyo n’afunayo ekimyula kye yagatiddwa nakyo wakati mu kukuumibwa okw’amaanyi okwakoleddwa abajaasi, bakanyama ne poliisi.

Meddy Kitaakufe omusumba w’ekkanisa ya Grace Tabernacle e Kasubi ku Munaku yagatiddwa n’omukyala omulala mu kkanisa ya Baptist Church e Nakulabye ku ssaawa 7:00 ez’emisana ku Lwomukaaga.

Omukolo guno gwetabiddwako abantu bamuswaba ng’abasinga baabadde bagoberezi be okuva mu kkanisa ye.

Tegwakiriziddwako bantu beekengerwa era emiryango egiyingira kkanisa eno gyonna gyasiddwako obukuumi .

Abapoliisi abalala batuuziddwa mu kkanisa munda bakira mwe basinziira okugirawuna ate omusumba n’omugole we baakuumiddwa bakanyama n’abaserikale bakira abambadde galubindi enzirugavu n’abalala ababadde banekedde mu byambalo by’amaggye.Abapoliisi abaabadde bakuuma.

Oluvanyuma lw’okubagatta, abagole baagenze e Munyonyo gye baagabulidde abagenyi baabwe.

Kitakufe aludde ng’abantu n’ezimu ku ndiga ze zimwemulugunyako olw’okuganza abakazi ewatali kusosola bafumbo n’abatali era yakubwako ne mu mbuga ng’entabwe eva ku kusigula mukamusajja.

Bukedde ku Ssande nga October 21,2007, yafulumya amawulire ga Kitaakufe okuganza Florence Nabaweesi muka Rogers Kakeeto era nti baali bategeka kugattibwa mu kkanisa ya Miracle Centre ey’omusumba Robert Kayanja.

Kakeeto yabakuba mu mbuga oluvanyuma lw’okufuna obujulizi obubalumiriza nga bwe baali mu mukwano omungi.
Mu mpaaba ye, Kakeeto yagamba nti yali agudde ku bbaluwa z’omukwano wakati wa Kitaakufe ne Nabaweesi.

Kakeeto yalaga n’ebifaananyi mukaziwe n’omusumba bye baali bazze beekubisa nga beekutte balya bulamu.

Kakeeto yayawukana ne mukyalawe n’amulekera omusumba gwe yalumiriza mu kkooti nti ye yatabula obufumbo bwe ne mukyalawe bwe baagattibwa empeta era nga balina omwana omu. Kigambibwa nti Nabaweesi yazaala omwana era nga kiteeberezebwa nti wa musumba Kitaakufe.

Wabula oluvannyuma Kitaakufe ate yakwanyeyo omuwala omulala omubalagavu eyamwerabizza Nabaweesi bwatyo n’ategeka embaga ku Lwomukaaga yadde nga waliwo ebigambibwa nti alinayo n’abawala abalala bangi omuli ne b’azaddemu abaana.

Mukazi wa Kitaakufe nnamba emu Yudaaya Kitaakufe yategeezezza nti Kitaakufe musajja muzibu nnyo eyagaana n’okulabirira abaana baabwe abataano be yamuzaalamu nadda mu kuwasa abakazi nti era ensonga yazitutte mu kkooti.

Yagaseeko nti omusumba alina n’omuze gw’okupasula abakazi nti kubanga Nabaweesi yamupasula ku Kakeeto nti ate n’omugole gwe yagatiddwa naye yamupasudde ku musajja e Busoga bwe yabadde azze okumusabira obufumbo bwe ne bba butereere .

Yannyonyodde nti embaga eno ebadde ekuumibwa nga yakyama olw’okutya nti ye Udaaya ne Nabaweesi, naye gwe yazaalamu omwana baabadde basobola okugiremesa. Yabadde atya ne bba w’omukazi gwe yagatiddwa naye nti ayinza okuva e Busoga n’abazinda.

Eggulo Bukedde yatuuse ku kkanisa ya Kitaakufe kyokka n’agaana okwogera n’omusasi waffe.Yategeezezza nti yabadde n’emirimu egy’okukola.